You are here

Kkooti Esazizaamu Okuyisibwa Kwe Tteeka Erivunaama Abalya Ebisiyaga

Kkooti etaawuulula n’okutaputa ssemateeka esazizaamu okuyisibwa kwe tteeka erivunaama abalya ebiyitibwa ebisiyaga naye nga kwesa mpiki z’amukwano mu busobu.

Abalamuzi bataano ababadde bakulembeddwa akola obwa Saabalamuzi Steven Kavuma, balambuludde nti ppalamenti okutuuka okuyisa etteeka linoi ababaka baali tebawera muwendo gukkirizibwa kuyisizaako tteeka, era nebanenya nnyo Akubiriza olukiiko olukulu Rt Hon. Rebecca Alitwala Kadaga okuguguba n’ayisa ebbago ng’ababaka tebawera.

Kaakano Ggavumenti y’akuliyira abawaabi ebitundu ataano ku kikumi ku nsimbi zebasaasanyizza mu kaweekejje w’okutuusa omusango ku ntikko.

Wabula wadde nga ogwo guli gutyo abantu ssekinoomu bakyavaayo okuvumirira ekikoleddwa kkooti eno, era bannaddiini bata Akaka nti ssi baakutiiririra nnono na buwangwa bwaffe abaddugavu,era baakuwakanya ebisalidwawo.

Kkooti etaawuulula n’okutaputa ssemateeka esazizaamu okuyisibwa kwe tteeka erivunaama abalya ebiyitibwa ebisiyaga naye nga kwesa mpiki z’amukwano mu busobu.

Abalamuzi bataano ababadde bakulembeddwa akola obwa Saabalamuzi Steven Kavuma, balambuludde nti ppalamenti okutuuka okuyisa etteeka lino ababaka baali tebawera muwendo gukkirizibwa kuyisizaako tteeka, era nebanenya nnyo Akubiriza olukiiko olukulu Rt. Hon. Rebecca Aalitwala Kadaga okuguguba n’ayisa ebbago ng’ababaka tebawera.

Kaakano Ggavumenti y’akuliyira abawaabi ebitundu ataano ku kikumi ku nsimbi zebasaasanyizza mu kaweekejje w’okutuusa omusango ku ntikko.

Wabula wadde nga ogwo guli gutyo abantu ssekinoomu bakyavaayo okuvumirira ekikoleddwa kkooti eno ,era bannaddiini bata akaka nti ssi baakutiiririra nnono na buwangwa bwaffe abaddugavu,era baakuwakanya ebisalidwawo.

Bya Alfred Ssembajjwe

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..