You are here

Akasiimo k'obuwumbi 6 Museveni keeyawa abakungu kabizadde, palamenti etuula olwaleero

  • Palamenti ya Uganda

Palamenti ya Uganda eddamu okutuula olunnaku olwaleero okubaganya ebirowoozo ku nzonga ezenjawulo ezitekeddwa okuyamba eggwanga lino.

Ezimu ku nsonga ezigenda okutesebwako z'enkyukakyuka mu ssemateeka w'eggwanga lino ezirina okolebwa mu Gavumenti z'ebitundu, ezinasobozesa okulonda ba ssentebbe b'ebyalo okuli owa LC 1 ne LC 2.

Mungeri y'emu balina okusiima ebirungi ebikoleddwa omukwasi wa ggoolo Denis Onyango eri eggwanga lino kuba okufuka Munnayuganda asoose okulondebwa ku buzannyi bw’omwaka ku lukalu lwa Africa, kitunze nnyo eggwanga.

Ensonga endala eyabadde erina okutesebwako z'ensimbi ezaweebwa abakulu mu bitongole bya Gavumenti eby'enjawulo nga obusiimo, oluvanyuma lw'okuwangula omusango gwa mafuta wabula olunnaku olw'eggulo, amyuka Ssabalamuzi Steven Kavuma, yafulumiza ekiwandiiko, ekitangira omuntu yenna, okuteesa ku nsonga eyo.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..