You are here

Gen Katumba Wamala bamuwadde ebitibwa okusinga byabaddeko – Don Wanyama

  • Don Wanyama

Omuwaabuzi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ku nsonga z'amawulire Don Innocent Wanyama atendereza enkyukakyuka ezikoleddwa mukama we, mu kitongole ky'amagye kuba kigenda kuyamba nnyo, okukyusa eggwanga lino.

Okusinzira ku kiwandiiko, ekyafulumiziddwa nga kiriko omukono gwa Pulezidenti, Maj. Gen. David Muhoozi yasikidde Gen Katumba Wamala nga ssabaduumizi w'amagye era yakuziddwa nga mu kiseera kino, general awadde emirimu.

Gen Katumba Wamala

Gen Katumba Wamala, awereddwa obwa minisita omubeezi ow’emirimu.

Maj. Gen. Wilson Mbadi eyali omukumi wa Pulezidenti yalondeddwa okumyuka ssabaduumizi w'amagye.

Gen. Charles Angina, yalondeddwa okumyuka aduumira entekateka y'okulwanyisa obwavu mu ggwanga lino eya bonna bagaggawale.

Don Nabasa yakuziddwa era mu kiseera kino coloneli awedde emirimu era yasikidde Muhoozi okuduumira ekibinja ky'amagye ekya Special Forces Group ekikuuma omukulembeze w'eggwanga lino.

Brig Peter Elwelu eyagulidde erinya olw'okulemberamu okulumba olubiri lw'omusinga e Kasese omwafuira abasuuka 70, yakuziddwa era mu kiseera kino Maj. General, era y'agenda okuduumira eggye ly'oku ttaka.

Mutabani wa Pulezidenti Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba akyusiddwa era mu kiseera kino, yavunanyizibwa ku bikwekweto byona eby'amagye mu ggwanga lino n'abalala abangi abakyusiddwa.

Ku nsonga eyo, Don Wanyama agambye nti ekya Gen Katumba Wamala okumugya ku ky'okudumira amagye okumuwa obwa minisita kiraga nti akuziddwa era agenda kuyambako eggwanga lino, okulakulana nga bw'azze akola emirimu gye.

Mu ngeri y'emu agambye nti okutukiriza "Ekisanja akuna Muchezo" n'okutwala Uganda mu "middle income country", Gavumenti yetaaga abantu abalimu ensa okutwala ensonga mu maaso.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..