You are here

Obunkenke mu ggwanga, Minisita alekulidde omulimu gwe, atidde okutibwa

  • Sheriff Bojang

Minisita w'ensonga z'amawulire mu ggwanga erya Gambia, Sheriff Bojang asuddewo tawulo nga kivudde ku butakanya obuli mu ggwanga eryo bukya Yahya Jammeh awangulwa Adama Barrow ku bukulembeze bw'eggwanga eryo kyoka n'awakanya ebyava mu kulonda wadde mu kusooka yali abikiriza n'asuubiza n'okuwaayo obuyinza mu mirembe.

Agava mu ggwanga eryo ku ttiivi ye ggwanga, minisita Bojang tasuddewo busuuzi tawulo wabula agobeddwa kuba y'omu kwabo, abagala Jammeh aweeyo obuyinza.

Wabula ekibiina kya mawanga amagate ekya United Nations kisabye Jammeh akirize okuva mu ntebbe okusobola okutebenkeza eggwanga eryo.

Mu ngeri y'emu kkooti ensukulumu mu Gambia olunnaku olwaleero, lw'egenda okuddamu okuwuliriza omusango gwa Jammeh mwawakanyiza ebyava mu kulonda era ayagala kudibwemu kuba kwalimu ebirumira.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..