You are here

Tewali ayinza kunemesa mu Kampala, Lukwago ayise bakansala okuteesa ku nsonga za minisita Kamya

  • Erias Lukwago

Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ayise olukiiko lwa bakansala mu lukiiko lwa Kampala Capital City Authority (KCCA) olunnaku olwaleero, okuteesa ku nsonga ezikwata ku kibuga Kampala.

Beti Olive Namisango Kamya

Lukwago agambye nti ensonga 3 ezigenda okutesebwako ne bakansala okuli ensonga ya minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya okumulemesa okumuwa omusaala gwe, entambula y’emirimu mu kitongole kya KCCA n’okubaganya ebirowoozo ku nsimbi ze'kitongole ezasalibwako.

Omuloodi agamba nti okukendeza ku nsimbi ezitambuza emirimu mu kitongole kya KCCA, kigenda kulemesa abakulembeze okutambaza emirimu gye ne bannakampala okubonabona omuli kasasiro okweyongera mu kibuga, okulemererwa okulondola amalwaliro, amasomero n’ensoga endala.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..