You are here

Tukooye ennyota y'akaboozi, Kanyamunyu ne banne baduukidde mu kkooti okweyimirirwa ku misango gy'obutemu

  • Kanyamunyu ne banne

Kkooti enkulu mu Kampala wansi w’omulamuzi Elizabeth Kabanda, olunnaku olwaleero lw'egenda okuwuliriza okusaba kwa Mathew Kanyamunyu, muganzi we Cithia Munwangali ne Muganda wa Kanyamunyu,  Joseph Kanyamunyu, kwebatekaayo nga basaba bayimbulwe bawoze emisango egibavunanibwa nga bava bweru.

Bano bakamala mu kkomera omwezi gumu ne kitundu ku musango gw’okutemula Keneth Akena nga 12, Novemba, 2016, wali mu Kampala okumpi ne kibangiriza kya Bannamakolero e Lugogo.

Abavunanibwa nga bakulembeddwamu munnamateeka wabwe Godfrey Nangumya, bagamba nti okweyimirirwa, ddembe lyabwe, mu ssemateeka w’eggwanga lino ate bannayuganda abalina obuvunanyizibwa nga tebayinza kuduuka mu ggwanga singa omulamuzi akiriza ne bayimbula ne bewozaako nga bava bweru.

Omulamuzi Kabanda yasigadde okusalawo ku nsonga yabwe, olunnaku olwaleero.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..