You are here

Emizimu gy'abatibwa e Kasese gitabukidde Gavumenti ku lwa Maj Gen Elwelu, mutunyonyole

  • Maj Gen Elwelu

Abatuuze mu bitundu bye Kasese, baduukidde ku ntana z'abantu abatibwa omwaka oguwedde ogwa 2016 mu Novemba, mu kulwanagana okwali mu kitundu kyabwe nga magye galumbye olubiri lw'Omuzinga abantu abasuuka mu 70 ne batibwa, okowoola emizimu, okuvayo okubatasa kuba ekiri mu ggwanga lino, kyongedde okuzitowa.

Omuzimu

Abatuuze bakombye ku paasi nga bawakanya eky'omukulembeze w'eggwanga lino, okulinyiza amaddala Peter Elwelu okuva kya Brigadier okudda ku kya Major General era mu kiseera kino, y'aduumira eggye ly'oku ttaka.

Banno bagamba nti Maj Gen Elwelu okutta abantu mu kitundu kyabwe y'ensonga lwaki yakuziddwa era ekiraga nti omusaayi gukyayika, abamagye okutta abantu, okusobola okuzibwa.

Saul Maate munna FDC era ssentebbe wa disitulikiti y'e Kasese agambye nti Omusaayi ogw'abantu ogwayiika eta Pulezidenti mwasimidde abantu.

Ate omubaka omukyala ow'e Kasese, Winnie Kiiza agambye nti eggwanga liweddemu ensonyi nga kyewunyisa Maj Gen Elwelu, okuddumira okutta abantu ate ye yasimiddwa mu kifo ky'okutwalibwa mu kkooti.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..