You are here

KYOKA AFRIKA! Pulezidenti Buhari ayimiriza okukyalira Jammeh mu Gambia

  • Muhammadu Buhari
    Muhammadu Buhari

Omukulembeze w'eggwanga erya Nigeria Muhammadu Buhari ayongezaayo okukyala kwe mu ggwanga erya Gambia, okubadde kulina okubaawo olunnaku olwaleero.

Yahya Jammeh

Okusinzira ku mawulira agava mu offisi ye, tewali nsonga yonna ewereddwa lwaki, ayimiriza okugenda kwe, olunnaku olwaleero.

Kitegerekese nti Buhari, wakugenda mu Gambia ku Lwokutaano sabiti eno nga 13, Janwali, 2017.

Ezimu ku nsonga ezimutwala mu ggwanga eryo, kwe kusisinkana mukulu munne Yahya Jammeh, okumusaba akirize okuwaayo obuyinza eri Adama Barrow eyamuwangula mu kulonda okwali mu ggwanga eryo nga 1, Desemba, 2016 kuba okuwakanya ebyava mu kulonda, nga yali ebikiriza, kiyinza okutabangula eggwanga eryo.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..