You are here

Mukomyewo ensimbi zaffe, abavubuka mu Kampala batabukidde abanene mu Gavumenti

  • Abavubuka mu Kampala
    Abavubuka mu Kampala

Abavubuka okuva mu bibiina ebyenjawulo omuli ekya Nrm Youth league , Jobless Brotherhoods, Sauti ya vijan, Citizens Campaign against Corruption n'abantu babuligyo, bagasse eddoboozi lyabwe, okulwanyisa obuli enguzi mu ggwanga lino, kuba ensimbi ezibibwa, zongedde okudibaga enkulakulana y'eggwanga lino.

Banno bagamba nti waliwo, abakulu mu Gavumenti abegumbulidde okutwala ebisawo bya ssente nga bannayuganda tebalina ddagala malwaliro, abasomesa bafuna omusaala mutono ddala, abantu tebalina mirimu, ekintu kye bagenda okulwanyisa.

Mungeri y'emu basabye bannayuganda okwegata okulondola ensimbi zonna, ezaweddwa abakulu mu Gavumenti nga akasiimo obuwumbi 6 olw'okuwangula omusango gw'amafuta.

Herbert Burora, ssentebbe w'ekibiina ekirwanyisa obuli bw'enguzi ekya Citizens Campaign against Corruption agambye nti wadde amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma yayimiriza abantu bonna okwogera ku nsimbi eze, tebagenda kupowa kuba nsimbi zebatwala za bannayuganda wabula ssi Kavuma nga bwalowooza.

Mungeri y'emu bawadde bannansi amagezi nti abantu bonna abalya ensimbi ezo, bagobwe masinzizo, babasabe okomyawo ensimbi zebatwala n'okulekulire ebifo byabwe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..