You are here

Okukuza amatikkira ga Kyabazinga, abanene bayitiddwa

  • Amatikkira ga Kyabazinga

Ebugumu ly'eyongedde mu bwa Kyabazinga bwa Busonga nga bali mu kwetekeratekera amatikkira ga Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV nga 11, Febwali, 2017.

William Wilberforce Gabula Nadiope IV

Okusinzira ku ssentebbe w'olukiiko olutegesi, Owek Richard Mafumo, emikolo ku mulundi gunno, gitwaliddwa ku kitebe kya disituklikiti y'e Namutumba mu lubiri lwe Busiki.

Mungeri y'emu agambye nti emikolo gy'omulundi gunno gya kutambulira ku mulamwa ogugamba nti "Okwegata g'emannyi ga Busoga".

Ku nsonga y'emu Minisita w'amawulire mu bwa Kyabazinga Andrew Ntange ne Moses Balidawa Ngobi, akola ku byokwerinda bagambye nti ku mulundi gunno, bategese ebikujjuko bingi ddala omuli olusisira lwe by'obulamu okujanjaba abantu endwadde ezenjawulo, okusomesa abantu ku by'obulimi, eby'obuwangwa, omuzannyo gw’ekigwo n'ebintu ebirala.

Mungeri y’emu agambye nti abakungu bangi abayitiddwa omuli Kabaka wa Buganda, Obusinga bwa Rwenzururu, n’abalala.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..