You are here

Twagala nkyukakyuka ez'omuggundu mu ssemateeka - MUASA

  • Aba MUASA

Abasomesa ku yunivasite y'e Makerere abegatira mu kibiina kyabwe ekya Makerere University Academic Staff Association (Muasa) bagala enkyukakyuka mu ssemateeka wabwe, okusobola okumalawo obugulumbo mu ntambuza y'emirimu gyabwe.

Ezimu ku nkyukakyuka zebagala gwe muwendo omutufu ogwetagisa okusalawo ku nsonga ezimu okugyawo ogwa 30 ogubaddewo, enkyukakyuka mu ngeri y'okulonda obukulembeze ne banga buli muntu alondeddwa, lyatekeddwa okuwereza.

Ssemateeka wa MUASA yabagibwa mu 1975, nga bakooma okola enongosereza ku nsonga Dr. Lawrence Mugisha, amyuka ssabawandiisi w'ekibiina kyabwe, agambye nti bategese okulonda mu gw'okuna, 2017, okusobola okufuna obukulembeze obugya omuli ekya Ssentebbe n'omumyuka we, ssabawandiisi n'omumyuka sako n'oyo, akwasaganya eby'ensimbi.

Mungeri y'emu agambye nti ekya yunivasite okugalwa, kyalemesa entekateeka zabwe, omuli okwebuuza kuba memba bonna ebirina okukyusibwa mu ssemateeka n'okutekawo ennaku ez'okukyusa obukulembeze.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..