You are here

Janani Jakaliya Luwum agenda kuba muzibu wa kuzikawo ku mulembe gwaffe - Museveni

  • Pulezidenti Museveni

Ssentebbe w'ekibiina kya NRM era omukulembeze w'eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni, akowodde bannansi mu ggwanga lino, okufuna eky'okuyiga ku kikolwa ekyakolebwa eyali ssabalabirizi w'ekanisa ya Uganda, Janani Jakaliya Luwum eyatibwa ku mulembe gwa Idi Amin Dada eyali omukulembeze w'eggwanga lino mu 1977.

Janani Jakaliya Luwum

Museveni agambye nti Luwum yali musajja alemera ku nsonga, omwesigwa, atambulira ku nkola y'amateeka ate nga yakola ennyo, okumanyisa bannansi eddini mawanga agenjawulo omuli Uganda, Burundi, Rwanda, DR Congo n'amawanga amalala.

Obubaka bwe, bwetikiddwa omumyuka we, Edward Kiwanuka Ssekandi ku mikolo, gy'okujjukira nga bwegiweze emyaka 40 bukya Luwum atibwa, egyabadde e Mucwini mu disitulikiti ye Kitgum, olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.

Luwum yatibwa kubigambibwa nti, yali atandiise okugyemera ebiragiro bya Idi Amin Dada era okutibwa kwe, yatibwa ne baminisita 2 abali bawereza mu Gavumenti eyaliko okuli Charles Oboth Ofumbi eyali minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga ne Lt. Col. Erinayo Oryema eyali akwasaganya eby'obuwangwa ku mulembe ogwo.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..