You are here

Okutangira okwekalakasa e Makerere, akakiiko katekeddwawo

  • Roy Ssemboga
    Roy Ssemboga

Abakulu ku yunivasite y'e Makerere, bakiriza okuwuliriza okwemulugunya kwa abaana, abasuubiza okwekandaga n'okutandiika olunnaku olwaleero singa abakulu abakulirwa amyuka Chansala Prof John Dumba Ssentamu, bateeka pamba matu gabwe ne balemwa okuwuliriza ensonga zabwe.

Abaana abasuuka mu 400, basuubiza okutabangula amattikira agatandiika sabiti ejja nga 21 okumala ennaku 4, nga bawakanya amannya gabwe, obutatekebwa mu katabo k'abaana abagenda okuttikirwa ate nga buli kimu, ekyetagisa, basobola okukitukiriza.

Abaana bagambye nti betegefu okutabangula emikolo gy'amatikira singa, babalemesa okubatikira.

Ebigambo ebyo, bitengudde abakulu ku yunivasite ne batekawo akakiiko, okwekenenya ensonga z'abaana nga amattikira teganatuuka.

Okusinzira ku Ssemboga Roy akulembera abayizi, akakiiko kagenda kwekenenya buli muyizi yenna era anasangibwa ng'alina buli kyetagisa nga n'okuyita yayita, wakuttikirwa.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..