You are here

Okutyobola eddembe ly'obuntu mu ggwanga, Museveni asukiridde era tumukooye - Winnie Kizza

  • Winnie Kiiza
    Winnie Kiiza

Ababaka ba Palamenti okuva mu bitundu bye Kasese, bavumiridde ekya Gavumenti okutyobola eddembe ly'obuntu okweyongedde obungi mu ggwanga, ekintu ekimenya amateeka.

Omusinga Charles Wesley Mumbere

Banno nga bakulembeddwamu, omubaka omukyala owe Kasese era nga yakulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Winnie Kizza, bavumiridde eky'okulemesa omuntu yenna okukyalira Omusinga Charles Wesley Mumbere mu maka ge Muyenga kuba bukya ayimbulwa okuva e Luzira kakalu ka kkooti ku misango egy'enjawulo, omuli okulya mu nsi olukwe, obutujju, obubbi, okwagala okutta n'emisango emirala.

Kizza agamba nti wadde Omusinga yayimbulwa, naye engeri gyayisibwamu alinga ali mu kkomera kuba eddembe lye ery'obuntu, lyamugibwako dda.

Banno okuli William Nzoghu owe Busongora North, Harold Muhindo owe Bukonzo East ne Robert Centenary owe Kasese bagamba nti bagenda kulwana okutuusa nga ekikolwa ky'okutyobola eddembe ly'obuntu, kirwanyisiddwa mu ggwanga lino.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..