You are here

Amassimu gatekeddwa okusalwako leero - Gavumenti

  • Minisita Frank Tumwebaze

Gavumenti ekatiriza nti olunnaku olwaleero amassimu gonna nga ssi mawandiise, gagenda kusalibwako ku ssaawa 6 ez'ekiro kya leero.
Ekyama kino kibotoddwa minisita w'eby'empuliziganya mu ggwanga Frank Tumwebaze n'agamba nti okusalawo okugyako amassimu, kikoleddwa bannayuganda okutukiriza eky'okuwandiisa amassimu gabwe nga bwe kyalangirira ekitongole, ekirondoola, eby'empulizigannya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commisiion (UCC) ng'abantu bonna bawebwa omwezi mulamba okuwandiisa amassimu gabwe.
Mungeri y'emu minisita Tumwebaze agambye nti, okuwandiisa amassimu kyakuyamba nnyo, okutangira obuzzi bw'emisango obweyongedde obungi mu ggwanga lino omuli abatemu okweyambisa amassimu agatali mawandiise, okutukiriza ebigendererwa byabwe.
Wadde amassimu gasaliddwako ekiro kya leero, Minisita agambye nti abantu bonna abalina ssente ku Mobile Money, bakuwebwa omukisa, okuzigyayo ate nabbo, abatanaba kwewandiisa, bakyalina omukisa.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..