You are here

America evuddeyo ku nsonga za Uganda, mubangule abaana okomya okwegabangula

  • Deborah Malac

Gavumenti ya America esabye Gavumenti ya Uganda okulwanyisa okendeza ku baana abato, abatikibwa embuto mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.


Okusinzira ku Ambasadda wa America mu Uganda Deborah Malac, okutangira abaana okufuna embuto, Gavumenti etekeddwa okwenyigiramu okusinga obuvunanyizibwa obulekera abazadde bokka.
Ambasadda Marac agamba nti abaana abato okwegabangula y'emu lwaki n'obulwadde bw'ekikaba omuli mukenenya, bweyongedde mu baana abato.
Bino okubyogera, yabadde agulwawo eddwaliro mu disitulikiti y'e Kabarole erya Bukuku Health Centre IV eritekeddwamu ensimbi ekibiina ekirwanyisa ebirwadde ekya Centre for Disease Control nga liwemense shs 1.2B.
Ku nsonga eyo, abazadde bagamba nti obwavu y'emu ku nsonga lwaki balemererwa okufisaawo akadde okubangula abaana babwe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..