You are here

Pulezidenti Museveni atendereza nnyo Ssezaala wa Dr Besigye, Byanyima okutumbula ebyenjigiriza n'obulimi

  • Pulezidenti Museveni

Ssentebbe w'ekibiina kya NRM era omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni etendereza, omugenzi Boniface Byanyima nga omusajja abadde akozze nnyo, okulakulanya ebyenjigiriza, okutumbula eby'obulimi n'okutendeka abakulembeze mu ggwanga lino.

Omugenzi Byanyima ne Muwala we
Muzeeyi Museveni bw'abadde akungubagira Omugenzi maka ga mutabani we mu bitundu bye Muyenga mu Kampala akawungeenzi k'olunnaku olw'eggulo, y'agambye nti, Omugenzi Byanyima yali mussomesa omutendeka era abangudde abantu bangi mu ggwanga lino.
Mungeri y'emu agambye nti, y'omu kwabo abamusomesa mu kibiina eky'omusanvu mu 1959.
Ate ku nsonga y'ebyobulimi, Omugenzi Byanyima, akozze nnyo okusomesa eggwanga ku nnima ey'omulembe n'okusingira ddala okuba eky'okulabirako mu kitundu kye ekisangibwa e Ruti e Mbarara.
Mu ngeri y'emu agambye nti abadde musajja alemera ku nsonga kuba y'emu kwabo abaludde mu kibiina kya Democratic Party, atakyusibwa nga bweguli ku bakulembeze mu kibiina ekyo, ennaku zinno.
Ku ky'okungubagira Omugenzi Byanyima, Palamenti essaawa yonna, egenda kutula okuba eriiso evanyuma ku mugenzi n'okujjukira ebirungi byakoleddwa eggwanga lino.
Omugenzi wakuzikibwa ku Sande ku ssaawa 8 ez'emisana ku kyalo Ruti e Mbarara.
Omugenzi Byanyima, ssezaala wa Dr Kizza Besigye, yazaala Winnie Byanyima akulira ekitongole ky'obwenkanya n'okulwanyisa obwavu ekya OXFAM nga yafiridde ku myaka 97 egy'obukulu mu ddwaliro e Nakasere ku Lunnaku olwokubiri, abadde atawanyizibwa n'okusanyalala.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..