You are here

BULI OMU ASABIRE KENYA MU DDIINI YE! Odinga asabye okumulangirira ku buwanguzi, abawagizi ba NASA beyiiye ku nguudo

  • Raila Odinga

Ab'oludda oluvuganya Gavumenti mu ggwanga erya Kenya basabye akakiiko k'ebyokulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) okulangirira Raila Odinga ku bukulembeze bw'eggwanga lyabwe.

Abawagizi ba NASA
Abawagizi ba National Super Alliance (NASA) batandiise okweyiwa ku nguudo okuyisa ebivulu olwa Odinga okuwangula obukulembeze bwe Kenya nga basinzira kwebyo ebyalangiriddwa Musalia Mudavadi akulira ebyokulonda mu NASA.
Mudavadi yagambye nti Odinga yafunye obululu obukadde 8.04 ate Kenyatta 7.75 era mu kiseera kino abawagizi ba Odinga bagala ssentebbe w'akakiiko k'ebyokulonda Wafula Chebukati okulangirira omuntu wabwe.
Wabula Chebukati alabudde aba NASA okwedako kuba tebalina buyinza nga IEBC yokka yetekeddwa okulangirira omuwanguzi.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..