You are here

KIWEDDE! Uhuru Kenyatta awangudde obwa Pulezidenti bwa Kenya

  • Uhuru Muigai Kenyatta

Uhuru Muigai Kenyatta myaka 55 awangudde obukulembeze bw'eggwanga erya Kenya ekisanja eky’okubiri.
Kenyatta awangudde abantu 7 omuli Raila Amolo Odinga abadde akutte kaada y'omukaggo ogwa NASA mu kalulu akakubwa ku lunnaku olwokubiri nga 8, Ogwomunaana, 2017.
Okusinzira ku ssentebbe w'akakiiko k'ebyokulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) Wafula Chebukati, okulonda kwabadde kulungi nnyo okwabadde kw'amazina na bwenkanya mu bitundu byona.
Chebukati bw'abadde alangirira omunguzi ku kitebe kya IEBC mu kibuga Bomas agambye nti Kenyatta afunye obululu 8,203,290 (54.27%) ate Odinga amalidde mu kyakubiri 6, 762, 224 (44.745).

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..