You are here

MUVE KU NGUUDO! Minisita Beti Kamya alagidde abatembeeyi mu kibuga Kampala

  • Betty Olive Kamya

Minisita wa Kampala Betty Olive Kamya Namisango alabudde abatembeeyi abazeemu okweyiwa ku nguudo nti tebeyibaala era amateeka gagenda kubakwata.

Abasuubuzi
Minisita bw'abadde ayogerako eri bannamawulire ku Media Center oluvanyuma lw’omusubuuzi Olivia Basemera okufiira mu mwaala gwe Nakivubo nga adduka aba KCCA sabiti ewedde ku lunnaku olwokutaano nga 4, omwezi gunno ogwomunaana, abatembeeyi bagufudde mukisa okudda ku nguudo okutunda eby’amaguzi byabwe nga balowooza nti tebayinza kwatibwako.
Minisita Kamya era agambye nti wadde bakyanonyereza ku ngeri omukyala Basemera gyeyafaamu, tebayinza kukiriza batembeeyi kudda ku nguddo kuba kiyinza okutabangula ekibuga kyona.
Agamba, abatembeeyi bonna balina okudda mu butale basobole okutambuza emirimu gyabwe nga tewali abatataganya.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..