You are here

ENTIISA E NTEBE! Maama w'abaana 5 abatiddwa, ebitundu by'ekyama bitwaliddwa, Poliisi etandiise okubinonya

  • Omukyala eyatibwa mu 2016

Abatuuze ku kyalo Nkumba Bufulu mu Town Council y'e Katabi mu disitulikiti y'e Wakiso baguddemu entiisa abantu abatannategeerekeka bwe batemudde omukyala era nasalwako ebitundu by'omubiri ebimu.


Sarah Nakajjo Nakintu myaka 35 atiddwa era omulambo gwe gusangiddwa mu nsiko ku oluguudo olugenda ku mwalo gwe Kasenyi mu kitaba ky'omusaayi.
Okusinzira ku batuuze, omugenzi yasaliddwako ebbeere erya kkono, afumitiddwa ebiti mu kamwa n’ebitundu by’ekyama wamu n'okusalibwako ennyama mu feesi.
Omugenzi Nakajjo yalese abaana 5 ng’asembayo Jonathan Musoke wa myezi 7.
Aduumira poliisi mu bitundu bye Ntebe, Godfrey Ninsiima agambye ntu abantu 6 bebakwatiddwa mu bitundu bye Katabi ku Lw'entebbe wabula Poliisi eyongedde ebyokwerinda.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..