You are here

ANTI KOGIKWATAKO! Pulezidenti Museveni ayogedde kyawagira, alabudde bannayuganda okwegendereza

  • Pulezidenti Museveni

Ssentebbe w'ekibiina kya NRM era omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agambye nti abalonzi okulonda abakulembeze abakyamu n'okusingira ddala ab'oludda oluvuganya y'emu ku nsonga lwaki Gavumenti eremererwa okutuusa ebyetaago ku bannansi bonna.
Mukulu Museveni agamba nti, ababaka ba Palamenti abasinga obungi, kyebasinga okwagala okutesako kweyongeza misaala nga ensonga eziruma abantu, tezikwatiddwaako.
Bino okubyogera yabadde ku Uganda Museum ku mukolo, ebibiina omwegatira abavubuka ebyenjawulo ebisuuka mu 90 kwe byafunidde ebyuuma ebyenjawulo biyambeko okwetandikirawo emirimu.
Mungeri y'emu agambye nti bannayuganda balina okusitukiramu okubanja ebyetagisa mu bakulembeze babwe okusinga okumala obudde babwe ku nsonga ezitabakulakulanya Togikwatako.

Ababaka abawakanya okugikwatako

Pulezidenti Museveni era agambye nti bannayuganda balina okwegata okulwanyisa ebintu ebigibwa ebweru w'eggwanga omuli entebbe, engoye, engatto n'ebirala nga bayita mu kutandikawo ebyabwe ebiri ku mutindo gw’ensi yonna okusinga okusindika emirimu ebweru w'eggwanga nga bannansi bayuuya.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..