You are here

ANTI UGANDA! Abagambibwa okutta Kaweesi bagudde mu ssente, omulamuzi alagidde basasulwe bukadde na bukadde

  • Abagambibwa okutta

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Margaret Oumo Oguli alagidde Gavumenti okusasula obukadde 80 ku buli muntu eyakwatibwa ku by'okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga lino Andrew Flex Kaweesi olw'okubatulugunya nga basinzira mu kkomera e Nalufenya.

Omugenzi Kaweesi
Kaweesi yatibwa ku ntandiikwa y'omwaka gunno, ogwa 2017 omweezi ogwokusatu nga yakubwa amasasi ne banne 2 okuli Dereeva n'omukuumi we, agabatirawo e Kulambiro okumpi n'amaka ge.
Poliisi yakwata abantu 22 ku bigambibwa nti balina akakwate ku ttemu eryakolebwa ne batulugunyizibwa mu kkomera e Nalufenya.
Abavunanibwa nga bakulembeddwamu munnamateeka wabwe Ladislaus Rwakafuuzi batwala Gavumenti mu kkooti nga bagivunaana okweyambisa Poliisi n'amagye ga UPDF okubatulugunya.
Mungeri y'emu bategeza omulamuzi nti bakubwa waaya y'amasanyalaze, okumusiba kantuntunu, bayibwako amazzi n'engeri endala.
Wabula omulamuzi Oguli bw'abadde awa ensala ye agambye nti kimenya amateeka omusibe yenna okutulugunyizibwa kuba ku Poliisi taba na musango gwona okutuusa ng'asaliddwa ekibonerezo.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..