You are here

SIBIRUNGI! Embeera y'omubaka Nambooze eyongedde kubiggya, atwalibwa bweru kulongosebwa

  • Betty Nambooze Bakireke

Omubaka w’e Mukono mu Palamenti, Betty Nambooze Bakireke ajulidde kutwalibwa mawanga g'ebweru okufuna obujanjabi mu bwangu kuba embeera gy'alimu buli ssaawa eyitawo eyongera kubigya.
Nambooze bw'abadde awayamu naffe agambye nti yafuna obuzibu mu nkizi ng'atekeddwa okutwalibwa ebweru, okufuna obujanjabi.
Enkizi zalwala oluvannyuma lw'okulwanagana n'abasirikale mu Palamenti eri ababaka abawakanya okukyusa akawayiro 102B okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga lino.
Omusasi waffe Nalule Aminah amutukiridde mu ddwaliro lya Medical Center Bugolobi n'agamba nti mu Uganda tewali ddwaliro lyona lisobola kujanjaba nkizi era atekeddwa okugenda ebweru okulongosebwa.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..