You are here

KIWEDDE! Okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, aba NRM bayitiddwa enkya ya leero

  • Pulezidenti Museveni

ABAKABONDO ka NRM mu Palamenti emisana ga leero bakuddamu okusisinkana mu Kampala, okubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka zebagala zikolebwe mu sseemateeka w'eggwanga lino.

Abakabondo ka NRM
Kimanyiddwa nti munna NRM era omubaka we Igara West, Raphael Magyezi yeyakulemberamu okwanjula ebbago mu Palamenti mwayagalira okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga lino nga bakyusa akawayiro 102B.
Amyuka ssentebbe w'akabondo ka NRM Solomon Serwanyi, akatiriza ku nsonga eyo n'agamba nti bakusisinkanira kw'offisi ya Ssabaminisita mu Kampala.
Mungeri y'emu agambye nti ensisinkano ya leero, bbo nga NRM bagenda kusalawo engeri gye bagenda okutundamu ensonga zabwe ezikwata ku ssemateeka w'eggwanga.
Olunnaku olwaleero ne ssentebbe w’ekibiina kyabwe era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni naye esubirwa okugyetabamu.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..