You are here

OKUBULANKANYA OBUWUMBI 24! Omusango gwa Byandaala ne banne gusalwa leero

  • Abraham Byandala

Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi Lawrence Gidudu enkya ya leero agenda kuwa ensala ye oba eyaliko minisita w'emirimu Abraham Byandala alina omusango gwatekeddwa okwanukula.

Oluguudo lwa Mukono - Katosi
Byandala mu kiseera kino y'e mubaka we Katikamu mu lukiiko lw'eggwanga olukulu, avunanibwa ne banne 6 okubulankanya ensimbi z'eggwanga obuwumbi obusuuka 24, ezali zibawereddwa okulongosa oluguudo lwa Mukono-Katosi Kilo Meter 72.
Abalala abavunanibwa kuliko Berunado Kimeze Ssebbugga, eyali omukozi mu kitongole ekikola enguudo ekya Uganda Natonal Raod Authotity (UNRA), Joe Ssemugooma, Wilberforce Senjako, omusuubuzi Apollo Senkeeto ne Isaac Mugote.
Emisango egibavunanibwa mulimu obuli bw'enguzi, okufiriza eggwanga, obubbi n'okutatana offisi zabwe.
Byandala ne banne singa omulamuzi agamba nti balina omusango, batekeddwa okwewozaako kyoka singa agamba nti tebalina, bakugibwako emisango gyona.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..