You are here

OKUKYUSA AKAWAYIRO 102B! Ab'oludda oluvuganya Gav't batandika leero okwebuuza ku bantu

  • Winnie Kizza

Ababaka ba Palamenti abawakanya okukyusa akawayiro 102B okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga lino, balabudde Poliisi obutagezaako wadde kubalemesa nga bagenze okwebuuza ku bantu.

Abawakanya okukyusa akawayiro 102B
Olunnaku olwaleero ku Lwokutaano, abawakanya okugikwatako lwe batandiika okwebuuza ku bantu era batandikira Nakawa ne Kireka akawungeenzi ka leero.
Ku nsonga eyo, akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti era omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kizza, Nampala w'oludda oluvuganya Ibrahim Ssemujju Nganda, Omubaka we Kalungu West Joseph Sewungu, Omubaka we Nakaseke South Semakula Luttamaguzi n'abalala, balabudde Poliisi obutagezaako wadde kubalemesa kuba batekeddwa kwebuuza ku bantu ssi bisolo.
Mungeri y'emu bagambye nti ku mulundi gunno sibetegefu kukiriza kamanyiro ka Poliisi kuba ensonga ya 102B ekwata ku bannansi bonna.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..