You are here

ABASAWO OKWEKANDAGA! Pulezidenti Museveni ategese okubasisinkana, balemeddeko bagala ssente

  • Pulezidenti Museveni

Kyaddaki omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alangiridde nga 17, Novemba, 2017, okusisinkana abasawo, abayimiriza emirimu gyabwe.

Abasawo
Abasawo mu ggwanga lino, abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Workers Association (UMA), bayimiriza emirimu gyabwe ku ntandikwa ya sabiti eno nga 6, Novemba, 2017, nga bemulugunya embeera embi gye bakoleramu omuli okufuna omusaala omutono, mu ddwaliro temuli ddagala, Gavumenti eremeddwa okubawa emotooka.
Embeera eyo, abalwadde bangi bafudde ate abamu bawaliriziddwa okudda awaka oba okugenda mu malwaliro ag'obwananyini okufuna obujanjabi.
Ku lunnaku olwokuna, nga 9, Novemba, 2017, Minisita w'ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng, yalagidde abasawo bonna abayimiriza emirimu gyabwe okuddayo bunambiro ku mirimu kuba singa bagyema, bonna bakangavulwa.
Minisita Aceng era yagambye nti ekibiina omwegatira abasawo ekya UMA tekimanyiddwa mu mateeka era abasawo bakoze nsombi okwekandaga.
Ate bbo abasawo nga bakulembeddwamu ssentebbe wabwe Dr Ekwaru Obuku bagambye nti ssi bakudda ku mirimu kuba Gavumenti etekeddwa okukola ku nsonga zabwe era Gavumenti etekeddwa okomya okubatisatisa.
Abasawo era basabye okusisinkana Pulezidenti Museveni okwanjula ensonga zabwe basobole okusalawo oba bakiriza okudda ku mirimu.
Ku nsonga eyo, Pulezidenti Museveni ategese okubasisinkana nga 17, Novemba, 2017 mu maka g'obwa Pulezidenti Entebbe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..