You are here

FFE TWABAGAMBA! Kyaddaki Poliisi eyogedde lwaki abagambibwa okutta Kaweesi bakwatibwa ogwokubiri, bali Nalufenya

  • Asan Kasingye

Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku basibe 4 abakwatiddwa amangu ddala nga bayimbuddwa omulamuzi wa kkooti e Nakawa Noah Sajabbi ku misango gy'okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga lino Andrew Felix Kaweesi.

Ahmed Ssenfuka
Ku basibe 15 abaletebwa mu kkooti okusaba okweyimirirwa nga 7, Novemba, 2017 omulamuzi Sajabbi yayimbulako 7 kyoka 4 ne bakwatibwa abasajja abali mu ngoye eza leeya amangu ddala nga bayimbuddwa.
Abakwatibwa kuliko Umaru Maganda, Ahmed Ssenfuka, Ibrahim Kisa ne Abdul Majid Ojegere era okuva ku lunnaku lwe bakwatibwa, teri abadde amannyi gye batwalibwa.
Enkya ya leero ku Mmande, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Asan Kasingye bw'abadde eyogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru agambye nti abantu 4 abakwatibwa bali Nalufenya, Jinja era Poliisi etandiise okunoonyereza.
Kasingye era agambye nti bbo nga Poliisi  tebenyigira mu kukwata bantu bbo wabula bakwatibwa ekitongole ky'amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) ku bigambibwa nti balina akakwate ku batujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF).
Bino okubyogera abadde ayanukula ekitongole ekilwanirira eddembe ly'obuntu ekya Uganda Human Rights Commission ekyakolokose ekitongola kya Poliisi okukwata abantu n'okubasiba mu ngeri emenya amateeka.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..