You are here

KITALO NNYO! Abantu 33 bafudde mu kabenje, bangi bakutuse amagulu n'emikono

  • Ekiri mu DRC

Abantu 33 bafudde, bangi banyiga biwundu, egaali y'omukka bwekutte omuliro mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo.


Okusinzira ku batuuze aberabiddeko nagabwe, egaali y'omukka okwata omuliro, esoose kutomera ekifunvu n'eva ku luggudo.
Abafunye ebisago, bakutuse amagulu n'emikono era batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Akabenje kano kagudde ku kitundu Buyofwe mu ssaaza lye Lualaba, ng'ebadde eyolekera kibuga Lubumbashi nga etiise ebyamaguzi ebyanguwa okukwata omuliro.
Abamu ku bantu abafudde babadde batuuze b'e Buyofwe.
Meeya w'essaaza Lualaba, Richard Muyej akakasiza akabenje kyoka alemeddwa okakasa omuwendo gw'abantu abafudde.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..