You are here

MUYOGEYOGE BANNAFFE! Ebya S6 bitandiise enkya ya leero, abasikawuutu bayunguddwa

  • Ebya S6 bitandiise

Abayizi ba S6 enkya ya leero batandiise ebigezo byabwe ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu ggwanga lyona.

Ku mulundi gunno, abaana 101,131 bebewandisa okutuula mu massomero agamanyiddwa agalina Center 2,205 nga kubbo abawala bali 41,901 by'ebitundu 41.4%.

Olunnaku olwaleero bagenda kukola okubala (Math) n'ebyafaayo (History).
Okusinzira ssaabawandiisi w'ekitongole ky'ebigezo ekya UNEB, Dan Odongo bayungudde abasikawuutu n'abasirikale era basindikiddwa mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo okutangira embeera yonna eyinza okuwaliriza abaana okwenyigira mu kukopa ebigezo oba abassomesa okwenyigira mu kulagirira abaana.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..