You are here

TEBANSOBOLA! Omar Al-Bashir atuuka mu Uganda essaawa yonna wadde ayiigibwa kkooti y'ensi yonna

  • Omar Al-Bashir

Omukulembeze w'eggwanga erya Sudan Omar Al-Bashir agenda kukyalira Uganda okuva nga 13 - 14 omwezi gunno ogwa Novemba.
Bashir yaliko mu ggwanga lino nga 12, Mayi, 2016 mu kulayira gw'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu kisaawe e Kololo wadde kkooti y'ensi yonna ekya International Criminal Court yamutekako dda ekibaluwa akwatibwe.

Y.K.Museveni
Okusinziira ku Don Wanyama omuyambi wa Pulezidenti omukulu akola ku byamawulire, Pulezidenti Yoweri Museveni ne Bashir bagenda kuteesa mu ngeri gye bayinza okutumbula enkolagana wakati w'amawanga 2 mu byobusubuzi n'okusingira ddala emwanyi, okunyweza ebyokwerinda, n'ensonga endala.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..