You are here

Abasawo okwekalakaasa kiraga nti NRM eremeddwa obuyinza era tulina okukyusa mu bwangu - Winfred Kiiza

  • Winfred Kiiza

Omubaka omukyala ow'e Kasese era nga yakulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti Winfred Kiiza alumbaganye Gavumenti obutafaayo ku byobulamu bannayuganda ne basigala okuffa ng'ebiyenje.

Abasawo
Kiiza agamba nti abasawo okwekandaga ne bayimiriza emirimu gyabwe okumala sabiti 2, kiraga nti Gavumenti eno tefuddeyo kulondola ensonga zabwe ezibanyigiriza.
Winfred Kiiza awadde bannayuganda amagezi okwegata okukyusa obuyinza mu 2021, okufuna Gavumenti, etegera ensonga zabwe.
Abasawo abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Workers Association (UMA), bayimiriza emirimu gyabwe ku ntandikwa ya sabiti ewedde ku Mmande nga bemulugunya embeera embi gye bakoleramu omuli okufuna omusaala omutono, mu ddwaliro temuli ddagala, Gavumenti eremeddwa okubawa emotooka, amayumba n'ensonga endala era zezimu ku nsonga lwaki bayimiriza emirimu gyabwe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..