You are here

KALE MUNAFFE WERABA! IGP Kayihura akoze enkyukakyuka ssinziggu, AIGP Kasingye agobeddwa ku bwogezi bwa Poliisi, Kayima alangiriddwa

  • AIGP Asan Kasingye

Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga General Kale Kayihura aliko enkyukakyuka z'akoze mu kitongole kya Poliisi era mu kiseera kino AIGP Asan Kasingye agiddwa ku bwogezi bwa Poliisi mu ggwanga kwamaze emyeezi 8.

General Kale Kayihura
Kasingye asikisiddwa abadde omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emirirwano SSP Emilian Kayima.
Okusinzira ku kiwandiiko ekisindikiddwa eri Poliisi zonna mu ggwanga lino nga kifulumiziddwa enkya ya leero (14, Novemba, 2017) Kasingye wakusigala nga omulung'amya w'ebyobufuzi mu Poliisi (Political Commissar) era kikoleddwa okulongoosa entambuza y'emirimu.

SSP Emilian Kayima
Mu kiseera kino Kasingye asigaliza emirimu omuli okutekateeka emisomo okubangula abasirikale bonna ebikwata ku byobufuzi.
Kinajjukirwa nti Kasingye yasikira Andrew Felix Kaweesi amangu ddala ng'atiddwa.
Kaweesi yakubiddwa amasasi n’omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Geofrey Wambewa agabatirawo nga 17, March, 2017 e Kulambiro okumpi n'amaka ge.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..