You are here

AMAZIGA E IGANGA! Omukyala atiddwa mu ntiisa, atemeddwako emikono, Poliisi ekutte omwana omuto

  • Crime Scene

Abatuuze ku kyalo Bugumba A mu gombolola y'e Nambaale mu disitulikiti y'e Iganga baguddemu ekyekango omu ku mutuuze munaabwe bwatemeddwa temeddwa nattibwa mu bukambwe.
Jessica Kawala Babirye myaka 45 eyali kansala omukyala mu kitundu ekyo, yatiddwa ng'atemeddwa ebiso ku mutwe n'okumutemako emikono era omulambo gwe gusangiddwa mu kitaba ky'omusaayi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu disitulikiti y'e Iganga James Mubi, Babirye yatiddwa bwe yabadde agenze mu lumbe lwa muganda we ku kyalo Buyungu era mu kitundu ekyo.
Mubi agamba nti omugenzi yatemeddwa n'ekiso era basobodde okukwata Musasizi Barnabas abayambeko mu kunonyereza nga n'ekiso ekyakozeseddwa kizuliddwa.
Omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro e Nakavule okwekebejjebwa n'okunoonyereza lwaki omukyala yatiddwa.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..