You are here

HAKUNA MUCHEZO! Okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, Y.K.Museveni asalawo leero

  • Pulezidenti Museveni

Akakiiko ka Palamenti ak'Ebyamateeka olunnaku olwaleero, kagenda kusisinkana ssentebbe w'ekibiina kya NRM era omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okutangaza oba awagira eky'okuggya ekkomo ku myaka gy'omuntu yenna ayagala obukulembeze w'eggwanga lino nga bakyusa akawayiro 102B mu sseemateeka w'eggwanga lino.

Ebbago okukyusa akawayiro 102B lyayanjulwa omubaka w'e Igara West Raphael Magyezi era lyasindikibwa mu kakiiko ka Palamenti ak'ebyamateeka okwebuuza ku bantu abenjawulo ku nsonga eyo.

Jacob Oboth-Oboth

Ssentebbe w'akakiiko, Jacob Oboth-Oboth agambye nti ensisinkano yabwe n'omukulembeze w'eggwanga ya ssaawa 9 ez'akawungeezi mu State House Entebbe.
Mungeri y'emu agambye nti mukulu Museveni agenda kwebuzibwako ng'omu kwabo abaali mu kalulu k'obwa Pulezidenti omwaka oguwedde ogwa 2016 wabula ssi nga omukulembeze w’eggwanga lino.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..