You are here

KIWEDDE! Pulezidenti Museveni akiwangudde, abasawo abasokerwako bayimiriza akeddimo kabwe

  • Abasawo abasokerwako

Abasawo abasokerwako mu ggwanga lino abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Nurses and Midwives Union (UNMU) bayimiriza akeddimo kabwe, akabadde kalangiriddwa okutandiika mu kiro ekikeseza olwa leero.
Banno okuyimiriza akeddimo kabwe, kidiridde okusisinkana omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni n'akiriza okukola ku nsonga zabwe omuli okuboongeza omusaala n'okulongoosa embeera gye bakoleramu.

Abasawo abasokerwako
Mu nsisinkano eyabadde mu State House Entebbe olunnaku olw'eggulo, Mukulu Museveni yalagidde minisitule y'abakozi okuboongeza omusaala.
Mungeri y'emu asuubiza okuzimba amayumba g'abasawo ku malwaliro agenjawulo n'okubawa ssente okuteeka mu SACCO yabwe.
Ku nsonga eyo, Ssaabawandisi w'ekibiina kya UNMU Paul Henry Bukenya asabye abasawo bonna abasokerwako okusigala ku mirimu gyabwe nga Gavumenti bwekola mu nkola ku nsonga zabwe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..