You are here

TUKOOYE EKKOMERA! Badayirekita ba Red Pepper baziddwaayo ku mmere y'e Luzira

  • Badayirekita ba Red Pepper

Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road James Ereemye Mawanda alangiridde nga 19, Desemba, 2017, okuwa ensala ye oba akiriza bassenkulu ba Red Paper 5 n'abakozi 3 okuyimbula kakalu ka kkooti.

Badayirekita ba Red Pepper
Omulamuzi okusalawo nga 19, kidiridde oludda oluwaabi okusaba okubongera obudde okwekenenya amaka, abavunanibwa gye bawangalira sako nabo, abaleteddwa nga emisango.
Oludda oluwaabi, lugamba nti abavunanibwa okuli Arinaitwe Rugyendo, James Mujuni, Johnson Byarabaha, Patrick Mugumya, Richard Tusiime.
N'abalala okuli Ben Byarabaha, Richard Kintu ne Francis Tumusiime amaka gabwe gatankanibwa ate singa bayimbulwa, bayinza okutataganya okunonyereza n'okuddamu okuwandiika amawulire agobulabe agayinza okusanyaawo enkolagana wakati wa Uganda ne Rwanda.
Wabula munamateeka wabwe Max Mutabingwa abiwakanyiza nategeza omulamuzi nti ku lunnaku abantu be, lwe bakwatibwa nga 14, Novemba, kompyuta zabwe, amassimu n'ebiwandiiko ebimu byatwalibwa nga kifo kyabwe ku kitebe kya Red Paper e Namanve kigaddwa Poliisi.
Embeera eyo, yewaliriza omulamuzi okwongezaayo okuwa ensala ye okutuusa nga 19, Desemba, 2017.


Abavunanibwa, bakwatibwa oluvannyuma lw’okufulumya amawulire agaaliko omutwe nti omukulembeze w'eggwanga lino Museveni ayagala kuggyako mukulu munne owa Rwanda Paul Kagame.
Bagulwako emisango egyenjawulo omuli emisango 3 egy’okuwandiika kalebula ekikontana n’akawaayiro 25 mu tteeka lya kompyuta, 3 gya kulebule bantu okuli omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, minisita w’obutebenkevu Lt. Gen. Henry Tumukunde n’omukwanaganya wa Operation Wealth Creation (OWC) Gen. Salim Saleh n’omusango omulala gwa kuwandiika amawulire agayinza okutabangula obutebenkevu n’ebyokwerinda by’eggwanga lino.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..