You are here

NZE SIMANYIIRWA! Abayimbi abagambibwa okutyoboola eddembe lya Pulezidenti Museveni bawonye ekkomera

  • Abayimbi abawonye

Kyaddaki omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu ayimbudde abantu 2 abakwatibwa okuli omuyimbi ne polodyusa ku bigambibwa bafulumya oluyimba, olumalako omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni eddembe lye.
Abayimbuddwa kuliko polodyusa Jonah Muwanguzi ne n’omuyimbi David Mugema era buli omu asabiddwa akakadde kamu ezobuliwo, n'obukadde 10 okuva mu bantu 5 (buli omu) ezitali zabuliwo eri abbo ababeyimiridde.

Ekibadde mu kkooti
Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati w'omwaka 2015 - 2017, abavunanibwa nga basinzira ku luguudo lwe Salama mu Gombolola y'e Makindye bafulumya oluyimba "Wumula" nga obubaka obulimu, bumalako Pulezidenti Museveni eddembe lye.
Mu kkooti, Julius Mbozi munnamateeka w'oludda oluwaabi ng’ava mu kakiiko akavunaanyizibwa ku by'empuliziganya mu ggwanga aka 'Uganda Communications Commission (UCC), abadde awakanyiza eky'okuyimbula abantu bbo kuba abaleteddwa nga emisingo balemeddwa okutukiriza ebyetaago omuli omuyimbi Willy Mukabya talina ndaga muntu.
Wabula Abdalla Kiwanuka munnamateeka w'oludda oluwawabirwa, akubye emeeza n'asaba omulamuzi okuyimbula abantu be kuba ddembe lyabwe okuyimbula ate basobodde okutukiriza byona ebisabiddwa kkooti.

Ekiri mu kkooti
Omulamuzi akiriziganyiza ne munnamateeka Kiwanuka n'abayimbula kuba Willy Mukabya muyimbi amanyikiddwa era musajja mugundiivu mu kisaawe ky’okuyimba kyoka n'abalagira okudda mu kkooti nga 21, Desemba, 2017.
Abalala abayimbi abakedde mu kkooti okutaasa banaabwe kuliko Catherine Kusasira, Dr Hilderman,  Haruna Mubiru n'abalala.

Ekibadde mu kkooti

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..