You are here

Okulongoosa embeera ya Poliisi, Pulezidenti Museveni ataddewo akakiiko okukikwasaganya

  • Pulezidenti Museveni

Omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ataddewo akakiiko okulakulanya ettaka lya Poliisi mu ggwanga lyona.

Persis Namuganza
Akakiiko akalondeddwa, kakulemberwa minisita omubeezi ow'ensonga z'ettaka Persis Namuganza.
Abalala abalondeddwa kuliko, Minisita omubeezi ow'ebyensimbi David Bahati, Minisita w'obuzimbi Chris Baryomunsi, w'ensonga z'omunda mu gwanga Gen Jeje Odong ne Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga lino Gen  Kale Kayihura.
Akakiiko okulondebwa, kidiridde Mukulu Museveni okutegezebwa nti ettaka lya Poliisi yiika ezisuuka mu 500, tekuli kiriko nga batekeddwa okulikulakulanya, okutumbula ebyenfuna mu kitongole ekya Poliisi.
Ensonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima agambye nti okulakulanya ettaka lya Poliisi kigenda kuyamba okulongoosa embeera eri abasirikale babwe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..