You are here

ANTI OBUYINZA! Pulezidenti Museveni awagidde okukyusa emyaka gy’ekisanja okudda ku 7 okuva 5 n’okukyusa akawayiro 102B

  • Pulezidenti Museveni

Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awagidde eky’okukyusa emyaka ku bisanja okudda ku 7 okuva kwe 5 eri omukulembese yenna alondebwa.
Mukulu Museveni agamba nti emyaka 5, teri mukulembeze yenna ayinza kuwereza balonzi okufuna ebiyinza okuyamba okwekulakulanya era y’emu ku nsonga lwaki bangi balemeddwa okuwereza obulungi.
Agamba nti mu Africa, amawanga gonna agakyakula, batekeddwa okulonda abakulembeze ku kisanja kya myaka 7 okufuna obudde obumala okulowoleza abantu babwe n’okuyiya ebyo, ebiyinza okuyamba mu kwekulakulanya.
Pulezidenti Museveni agamba nti okukyuka emyaka okuva ku 5 okudda ku 7, balina okukitesaako gye buggya kuba kyetagisa nnyo kyoka mu kiseera kino, balina ebintu bingi nnyo bye balina okukola.
Bino okubyogera, yabadde asisinkanyeko akakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka okuwayo ebirowoozo bye ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti nga bakyusa akawayiro 102B mu State House Entebbe.
Pulezidenti Musevenu y’agambye nti bannayuganda balina okuwebwa omukisa okulonda abakulembeze babwe nga tewali nsonga yonna lwaki omuntu asusiza emyaka 75 takirizibwa kwesimbawo ate ng’akirizibwa okulonda omukulembeze yenna.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..