You are here

MUSALE PULEESA! Gavumenti egenda kukola ku nsonga zabwe zonna, Minisita Opendi agumiza abasawo

  • Minisita Sarah Opendi

Gavumenti egumiza abasawo nti ensonga zabwe zonna zigenda kolebwako, basobola okutambuza emirimu gyabwe nga balina akamwenyumwenyu.
Ekyama kino kibikuddwa Minisita owa gunonaguli mu Minisitule y'ebyobulamu Sarah Opendi n'agamba nti ensonga zabwe omuli n'okubongeza omusaala zakolebwako mu mwaka ogujja ogw'ebyensimbi ogwa 2017 - 2018.
Minisita Opendi era agambye nti mu kiseera kino Gavumenti tesobola kukola ku nsonga zabwe kuba ensimbi zebafuna mu kiseera kino zatekebwa mu Bajjeti y'ebyensimbi 2016 - 2017, esemberedde okugwako.
Minisita yabadde mu kakiiko ka Palamenti ek'ebyobulamu olunnaku olw'eggulo.

Dr Ekwaru Obuku
Ku nsonga eyo, abasawo abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association (UMA), balabudde nti bbo bakuddamu okuyimiriza emirimu gyabwe sabiti ejja nga 16, Desemba, 2017 singa ensonga zabwe, tezikolebwako.
Ssentebbe w'ekibiina, Dr Ekwaru Obuku agambye nti singa Gavumenti eremererwa okukola ku nsonga zabwe obutasukka 16, Desemba, bagenda kuddamu okuyimiriza emirimu gyabwe.

News Category

Liked it? Share it..

Say something..

X

Like us on Facebook for more News, Pics, Videos, Events, Promos & lots of fun stuff..