Omulamuzi wa kkooti eya City Hall mu Kampala Beatrice Khainza, asindiise mu nkomyo abasajja 6 abakwatiddwa lwa kutatana omutindo gw’ennyama n’ebyennyanja nga beyambisa ebidaggaladagala.

Abasindikiddwa mu kkomera kuliko Erias Katumba, Isa Ssenoga , Isma Mutebi, Umar Kalyango, Baker Mulondo ne Ibrahim Ssekitto ku bigambibwa nti babadde beyambisa ebintu ebitakirizibwa, okugitangira ennyama n’ebyennyanja byabwe okuwunya omuli eddagala eritekebwa mirambo erya formalin.

Omulamuzi Khainza awadde amagezi abasindikiddwa mu kkomera nti baddembe okujjulira mu nnaku 14 singa baba tebamatidde n’ekibonerezo.

Mungeri y’emu agambye nti abasibye emyezi 8 kuba gwe mulundi gwabwe ogusookedde ddala okwatibwa mu nsobi bwetyo wadde olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu babadde begaanye omusango.

Abantu banno 6 bakwatiddwa mu kikwekweeto kya KCCA mu bitundu bya Kampala okukwata abatemi b’ennyama etali ku mutindo sabiti eno.