Mu nsi yonna buli muntu singa ajjumbira okukola, asobola okweyagala mu mbeera yonna n’okwesimisa abalala.

Mwana mulenzi Naseeb Abdul Juma amanyikiddwa nga Diamond Platnumz myaka 28 okuva mu ggwanga erya Tanzania era bba w’omukyala Zari Hassan y’omu kwabo abesimisa abantu mu nsi yonna.

Platnumz asobodde okweyambisa ekitone ky’okuyimba okwekulakulanya.

Mu ggwanga erya Tanzania Platnumz yayingizaamu ekyuma ky’emotooka, eyalobeza abantu bangi ddala.