Ebigezo by’abaana abatuula eky’omusanvu omwaka oguwedde ebya 2017, bifulumiziddwa enkya ya leero.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekitongole kye bigezo ekya UNEB Dan Odongo, ebigezo by’abaana 2559 bikwatiddwa nga kigambibwa nti benyigira mukoppa era batandiise okunoonyereza.

Mungeri y’emu agambye nti abaana, 57,198 bafunye 1st Grade, 293,977 2nd Grade, 128,573 3th Grade, 91,504 4th Grade ate abaana 57,354 bagudde n’enkona n’enywa.

Mu ggwanga lyona abaana 646,190 bebatuula ebigezo mu massomero 12,751 omwaka oguwedde ogwa 2017