Poliisi etandikiddewo okunoonyereza ekyaviridde ssemaka okwetuga era omulambo gwe, gwasangiddwa mu nju nga gulengejja.

Robert Kiyemba myaka 41 abadde mutuuze ku kyalo Kitala mu Town Council y’e Katabi e Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso era kigambibwa nti omukyala yekanaluzaala.

Abatuuze bagamba nti mukyala w’omugenzi Sylvia Namusisi okunoba y’emu ku nsonga lwaki omusajja yasazeewo okwetta kuba abadde asukiridde okunywa omwenge okusobola okomya okulowooza ku mukyala we era abadde yayogera dda okwetta.

Ku nsonga eyo, 100.2 Galaxy Fm ewayizaamu nakulira Poliisi y’e Mpala, Joseph Sekitoleko era akatiriza nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula, ekituufu ekyaviriddeko ssemaka Kiyemba okwetta.

Mungeri y’emu asabye abatuuze, okutegeza ku Poliisi ku bantu abalina obuzibu nga bagala okwetta okusinga okulindanga abantu abbo, okweggya mu bulamu bw’ensi