Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga, Uganda National Examinations Board (UNEB) enkya ya leero kigenda kufulumya, ebyava mu bigezo by’abaana abatuula omwaka oguwedde ogwa 2017 ekibiina eky’omusanvu (P7) primary leaving examinations (PLE).

Abaana 646,080 bebewandiisa okutuula ebigezo nga kubbo kwaliko baana abawala 333,495 ate abalenzi 312,585.

Abaana bonna batulira mu massomero 12,751 mu disitulikiti 116 nga ne kumulundi guno, abaana abawala basinga ku balenzi.

Aba UNEB, olunnaku olwaleero lwe bagenda okwasa minisita w’ebyenjigiriza era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga lino Janet Museveni ebyava mu bigezo by’abaana.

Olwaleero ku ssaawa 5:00 ez’oku makya, ttiimu y’abakungu ba UNEB nga bakulembeddwaamu Ssaabawandiisi Daniel Nokrach Odongo lwe basisinkana Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni okumuyitira mu byavudde mu PLE.

Omwaka oguwedde, ebyava mu PLE owa 2016 byafulumizibwa nga January 12, 2017 nga ku bayizi 622,299 abatuula PLE nga November 2 ne 3 2016, abayizi 541,089 baabiyita okwesogga S.1.