Kyaddaki mwana mulenzi Eddy Kenzo alangiridde nti yesonyiye omuyimbi Bebe Cool kuba tewali kibagata.

Sabiti eno ku lunnaku olwokutaano, omuyimbi Bebe Cool ne A Pass babadde ku ttiivi emu mu Kampala era Bebe yagambye nti mu bayimbi 20 abasinga okuyimba mu ggwanga lino Eddy Kenzo talimu kuba Uganda erina abayimbi bangi nnyo omuli  Jamal eyayimba Abakyala Bazira, Aziz Azion eyayimba Nkumila Omukwano n’abalala bangi nnyo.

Mungeri y’emu yagambye nti Eddy Kenzo tamanyi kuyimba kuba n’oluyimba Sitya Loss, abaana ba Ghetto kids bebasobola okulutunda olw’amazina.

Wabula Eddy Kenzo agambye nti Bebe Cool alina fitina ate musajja tategeera.

Kenzo agambye nti tagenda kuddamu kwogera ku Bebe okutuusa ng’awangudde ku ngule ez’amannyi.