Abasuubuzi mu Kampala abatambuliza emirimu gyabwe ku kizimbe kya Namaganda Plaza bakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky’okubongeza ssente z’obupangisa.

Abasuubuzi banno bagamba nti omugagga yayongeza ssente ebitundu 40 ku 100 n’okutandiika omwezi ogwa febwali gunno gwenyini omwaka ogwa 2018.

Kigambibwa ekizimbe kya mugagga Manisul Matovu ate Omugagga Young ye manejja.

Abasuubuzi bagamba nti tebayinza kukiriza mugagga kulinyisa ssente ate nga ebintu tebitambula bulungi era ekizimbe kigaddwa.