Poliisi olunnaku olw’eggulo yayimbudde,    abakwatiddwa nga besomye nti bakafulu mu kutta abantu nga banyoola ensiingo n’okutigomya bannakampala nga banyaga ebintu ebyenjawulo.

Abakwatibwa kwaliko Paddy Sserunjoji amanyikiddwa ennyo nga Ssobi ne banne babiri okuli Shafiq Kisozi and Tim Twaha nga bagibwa ku Rose Garden Hotel e Kyengera akawungeenzi k’olunnaku olwa Mmande ne batwalibwa ku Poliisi Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso oluvanyuma ne batwalibwa mu kaduukulu ka Poliisi e Nalufenya.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, agambye nti Ssobi ne banne, bayimbuddwa kakalu ka Poliisi okuwa omukisa abattibwako abantu babwe, okutegeeza ku bitongole ebikuuma ddembe nga ne Poliisi bwegenda mu maaso n’okunoonyereza.

Mungeri y’emu agambye nti buli munnayuganda alina eddembe lye, okuyimbulwa kakalu ka Poliisi era y’emu ku nsonga lwaki Ssobi ne banne bayimbuddwa.